16
Mukama Agera Ekkubo ly’Omuntu
Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe,
Naye okuddamu kuva eri Mukama.
 
Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye,
naye Mukama y’apima ebigendererwa.
 
Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama,
naye anaatuukirizanga entegeka zo.
 
Mukama buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa,
n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.
 
Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama;
weewaawo talirema kubonerezebwa.
 
Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa,
n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.
 
Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa Mukama,
aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe.
 
Akatono akafune mu butuukirivu,
kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.
 
Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye,
naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.
 
10 Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda,
n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.
 
11 Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama,
ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.
 
12 Kya muzizo bakabaka okukola ebibi,
kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.
 
13 Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira,
era baagala oyo ayogera amazima.
 
14 Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa,
omusajja ow’amagezi alibukkakkanya.
 
15 Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu;
n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba* mu biseera ebya ttoggo.
 
16 Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu,
era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!
 
17 Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi,
n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.
 
18 Amalala gakulembera okuzikirira,
n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
 
19 Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu,
kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.
 
20 Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana,
era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.
 
21 Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu,
n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.
 
22 Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina,
naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.
 
23 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi,
era akamwa ke kayigiriza abalala.
 
24 Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,
biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.
 
25 Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu,
naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.
 
26 Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi,
kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.
 
27 Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu,
era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo.
 
28 Omuntu omubambaavu asiikuula entalo,
n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.
 
29 Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we
n’amutwala mu kkubo eritali ttuufu.
 
30 Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona,
n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.
 
31 Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa,
gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.
 
32 Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,
n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.
 
33 Akalulu kayinza okukubibwa,
naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.
 
* 16:15 Ekire ky’enkuba mu biseera ebya ttoggo etegeeza kujimuka, era kabonero ka kukulaakulana na ssanyu