18
Ebigambo by’Abagezi n’Abasirusiru
Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka,
era tawuliriza magezi gamuweebwa.
 
Omusirusiru tasanyukira kutegeera,
ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.
 
Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako,
era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.
 
Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba,
naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.
 
Si kirungi kuttira mubi ku liiso,
oba okusaliriza omutuukirivu.
 
Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo
era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.
 
Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira,
era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.
 
Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,
bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
 
Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola,
waluganda n’oyo azikiriza.
 
10 Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi,
omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.
 
11 Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi,
era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.
 
12 Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
 
13 Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza,
buba busirusiru bwe era buswavu.
 
14 Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde,
naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?
 
15 Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya,
amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.
 
16 Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza,
era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.
 
17 Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu,
okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.
 
18 Okukuba akalulu kimalawo empaka,
era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.
 
19 Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize,
era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.
 
20 Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke;
ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.
 
21 Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta,
era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
 
22 Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,
era aganja eri Mukama.
 
23 Omwavu yeegayirira,
naye omugagga addamu na bbogo.
 
24 Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira,
naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.