7
Emitawaana Egiva mu Kukwana Omukazi Omwenzi
Mutabani nyweeza ebigambo byange,
era okuumenga ebiragiro byange.
Kwata ebiragiro byange obeere mulamu,
n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo;
togalekanga kuva mu ngalo zo,
gawandiike ku mutima gwo.
Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko,
n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo.
Binaakuwonyanga omukazi omwenzi,
omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.
 
Lumu nnali nnyimiridde
ku ddirisa ly’ennyumba yange.
Ne ndaba mu bavubuka abatoototo,
omulenzi atalina magezi,
ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi,
n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
olw’eggulo ng’obudde buzibye,
ekizikiza nga kikutte.
 
10 Awo omukazi n’ajja okumusisinkana
ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
11 Omukazi omukalukalu,
atambulatambula ennyo atabeerako waka,
12 wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu,
mu buli kafo konna ng’ateega!
13 N’amuvumbagira, n’amunywegera
era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:
 
14 “Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe,
leero ntukiriza obweyamo bwange.
15 Noolwekyo nzize okukusisinkana,
mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
16 Obuliri bwange mbwaze bulungi
n’engoye eza linena ava mu Misiri.
17 Mbukubye n’akaloosa,
n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
18 Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya;
leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
19 Kubanga baze taliiyo eka;
yatambula olugendo luwanvu:
20 Yagenda n’ensawo y’ensimbi;
era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”
 
21 Yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza;
n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
22 Amangwago omuvubuka n’amugoberera
ng’ente etwalibwa okuttibwa
obanga empeewo egwa mu mutego,
23 okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.
 
24 Kaakano nno batabani bange mumpulirize,
era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
25 Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye;
temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
26 Kubanga bangi bazikiridde,
ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
27 Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe,
nga likka mu bisenge eby’okufa.