Zabbuli 101
Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;  
nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.   
2 Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,  
naye olijja ddi gye ndi?  
   
 
Nnaabeeranga mu nnyumba yange  
nga siriiko kya kunenyezebwa.   
3 Sijjanga kwereetereza kintu  
kyonna ekibi.  
   
 
Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;  
sijjanga kubyeteekako.   
4 Sijjanga kuba mukuusa;  
ekibi nnaakyewaliranga ddala.   
   
 
5 Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,  
nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala  
sijja kubigumiikirizanga.   
   
 
6 Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,  
balyoke babeerenga nange;  
akola eby’obutuukirivu  
y’anamperezanga.   
   
 
7 Atayogera mazima  
taabeerenga mu nnyumba yange.  
Omuntu alimba  
sirimuganya kwongera kubeera nange.   
   
 
8 Buli nkya nnaazikirizanga  
abakola ebibi bonna mu nsi,  
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala  
mu kibuga kya Mukama.