Zabbuli 119
א Alefu
1 Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2 Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
3 Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
4 Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
5 Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
nga nkuuma bye walagira.
6 Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
7 Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
8 Nnaakwatanga amateeka go;
Ayi Mukama, tonsuulira ddala.
ב Bessi
9 Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
ndyoke nneme okwonoona.
12 Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
onjigirize amateeka go.
13 Njatula n’akamwa kange
amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
ng’asanyukira eby’obugagga.
15 Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 Nnaasanyukiranga amateeka go,
era siigeerabirenga.
ג Gimero
17 Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 Nze ndi muyise ku nsi;
tonkisa bye walagira.
20 Bulijjo emmeeme yange
eyaayaanira amateeka go.
21 Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
abaleka amateeka go.
22 Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
era ge gannuŋŋamya.
ד Daleeti
25 Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
onjigirize amateeka go.
27 Njigiriza amateeka go bye gagamba,
nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa;
ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
tondeka kuswazibwa.
32 Bw’onoosumulula omutima gwange,
nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.
ה Eh
33 Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
kubanga mwe nsanyukira.
36 Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
kubanga ebiragiro byo birungi.
40 Laba, njayaanira ebiragiro byo;
onkomyewo mu butuukirivu bwo.
ו Waawu
41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
kubanga neesiga kigambo kyo.
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
emirembe n’emirembe.
45 Era nnaatambulanga n’emirembe,
kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
nga sikwatibwa nsonyi.
47 Kubanga nsanyukira amateeka go,
era ngaagala.
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.
ז Zayini
49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
kubanga gwe wampa essuubi.
50 Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 Ab’amalala banduulira obutamala,
naye nze siva ku mateeka go.
52 Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
biwummuza omutima gwange.
53 Nkyawa nnyo abakola ebibi,
abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
nfunye emikisa gyo mingi.
ח Esi
57 Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
nasuubiza okukugonderanga.
58 Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
so seekunya.
61 Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
naye seerabirenga mateeka go.
62 Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 Ntambula n’abo abakutya,
abo bonna abakwata amateeka go.
64 Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
onjigirize amateeka go.
ט Teesi
65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
onjigirize amateeka go.
69 Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
ndyoke njige amateeka go.
72 Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.
י Yoodi
73 Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,
kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
era wali mutuufu okumbonereza.
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79 Abo abakutya bajje gye ndi,
abategeera amateeka go.
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
nneme kuswazibwa!
כ Kaafu
81 Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
82 Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;
ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
83 Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka,
naye seerabira bye walagira.
84 Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi
nga tonnabonereza abo abanjigganya?
85 Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;
be bo abatagondera mateeka go.
86 Amateeka go gonna geesigibwa;
abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
87 Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;
naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
88 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,
ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.
ל Lamedi
89 Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,
kya mirembe gyonna.
90 Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
watonda ensi era enyweredde ddala.
91 Amateeka go na buli kati manywevu;
kubanga ebintu byonna bikuweereza.
92 Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,
nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
93 Siyinza kwerabira biragiro byo;
kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
94 Ndi wuwo, ndokola,
kubanga neekuumye bye walagira.
95 Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;
naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
96 Ebintu byonna biriko we bikoma
naye amateeka go tegakugirwa.
מ Meemu
97 Amateeka go nga ngagala nnyo!
Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 Ntegeera okusinga abakadde;
kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
kubanga ggwe waganjigiriza.
103 Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
נ Nuuni
105 Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
era onjigirize amateeka go.
109 Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
naye seerabira mateeka go.
110 Abakola ebibi banteze omutego,
naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
ennaku zonna ez’obulamu bwange.
ס Sameki
113 Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
naye nze njagala amateeka go.
114 Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 Nkankana nzenna nga nkutya,
era ntya amateeka go.
ע Ayini
121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
era onjigirize amateeka go.
125 Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 Naye nze njagala amateeka go
okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.
פ Pe
129 Ebiragiro byo bya kitalo;
kyenva mbigondera.
130 Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja
nga njaayaanira amateeka go.
132 Nkyukira, onkwatirwe ekisa,
nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 Mponya okujooga kw’abantu,
bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
era onjigirizenga amateeka go.
136 Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
olw’abo abatakwata mateeka go.
צ Tisade
137 Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
era amateeka go matuufu.
138 Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
era byesigibwa.
139 Nnyiikadde nnyo munda yange,
olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
kyenva mbyagala.
141 Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
amateeka go ge gansanyusa.
144 Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.
ק Koofu
145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
Nnaagonderanga amateeka go.
146 Nkukaabirira, ondokole,
nkwate ebiragiro byo.
147 Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 Seebaka ekiro kyonna
nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
kyokka bali wala n’amateeka go.
151 Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.
ר Leesi
153 Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
kubanga seerabira mateeka go.
154 Ompolereze, onnunule,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
kubanga tebanoonya mateeka go.
156 Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 Abalabe abanjigganya bangi,
naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 Nnakuwalira abo abatakwesiga,
kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
n’amateeka go ga lubeerera.
ש Sini ne Sikini
161 Abafuzi banjigganyiza bwereere,
naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
olw’amateeka go amatuukirivu.
165 Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
tewali kisobola kubeesittaza.
166 Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
mbyagala nnyo nnyini.
168 Buli kye nkola okimanyi,
era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.
ת Taawu
169 Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
onnunule nga bwe wasuubiza.
171 Akamwa kange kanaakutenderezanga,
kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 Omukono gwo gumbeerenga,
kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 Ompe obulamu nkutenderezenga,
era amateeka go gampanirirenga.
176 Ndi ng’endiga ebuze.
Onoonye omuddu wo,
kubanga seerabidde mateeka go.