Zabbuli 122
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. 
 
1 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,  
“Tugende mu nnyumba ya Mukama!”   
2 Ebigere byaffe biyimiridde  
mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.   
   
 
3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba  
ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.   
4 Eyo ebika byonna gye biraga,  
ebika bya Mukama,  
okutendereza erinnya lya Mukama  
ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.   
5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;  
z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.   
   
 
6 Musabirenga Yerusaalemi emirembe:  
“Abo abakwagala bafune ebirungi.   
7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;  
n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”   
8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange  
nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”   
9 Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.