Zabbuli 133
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. 
 
1 Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,  
abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.   
   
 
2 Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni  
ne gakulukutira mu kirevu;  
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,  
ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.   
3 Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,  
ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;  
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa  
n’obulamu emirembe gyonna.