Zabbuli 146
1 Tendereza Mukama!  
   
 
Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!   
   
 
2 Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;  
nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.   
3 Teweesiganga bafuzi,  
wadde abantu obuntu omutali buyambi.   
4 Kubanga bafa ne bakka emagombe;  
ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.   
5 Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;  
ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,   
6 eyakola eggulu n’ensi  
n’ennyanja ne byonna ebirimu,  
era omwesigwa emirembe gyonna.   
7 Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,  
n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.  
Mukama asumulula abasibe.   
8 Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,  
era awanirira abazitoowereddwa.  
Mukama ayagala abatuukirivu.   
9 Mukama alabirira bannamawanga,  
era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;  
naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.   
   
 
10 Mukama anaafuganga emirembe gyonna,  
Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.  
   
 
Mutendereze Mukama!