Zabbuli 148
1 Mutendereze Mukama!  
   
 
Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,  
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.   
2 Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,  
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.   
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,  
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.   
4 Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,  
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.   
   
 
5 Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!  
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.   
6 Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,  
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.   
   
 
7 Mumutendereze nga musinziira ku nsi,  
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,   
8 mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,  
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,   
9 mmwe agasozi n’obusozi,  
emiti egy’ebibala n’emivule;   
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,  
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,   
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,  
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,   
12 abavubuka abalenzi n’abawala;  
abantu abakulu n’abaana abato.   
   
 
13 Bitendereze erinnya lya Mukama,  
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;  
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.   
14 Abantu be abawadde amaanyi,  
era agulumizizza abatukuvu be,  
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.  
   
 
Mutendereze Mukama.