Zabbuli 26
Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Onnejjeereze, Ayi Mukama,  
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;  
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,  
nga sibuusabuusa.   
2 Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;  
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.   
3 Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,  
era mu mazima go mwe ntambulira.   
   
 
4 Situula na bantu balimba,  
so siteesaganya na bakuusa.   
5 Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;  
so situula na bakozi ba bibi.   
6 Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;  
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;   
7 ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,  
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.   
   
 
8 Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,  
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.   
9 Tombalira mu boonoonyi,  
wadde mu batemu,   
10 abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,  
era abali b’enguzi.   
11 Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;  
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.   
   
 
12 Nnyimiridde watereevu.  
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.