Zabbuli 35
Zabbuli ya Dawudi.
Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya,
lwanyisa abo abannwanyisa.
Golokoka okwate engabo,
n’akagabo onziruukirire.
Galula effumu,
abangigganya obazibire ekkubo;
otegeeze omwoyo gwange nti,
“Nze bulokozi bwo.”
 
Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe
era baswazibwe;
abo abateesa okunsanyaawo
bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,
malayika wa Mukama ng’abagoba.
Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.
 
Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,
ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
bazikirizibwe nga tebategedde,
n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,
ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
10 Amagumba gange galyogera nti,
“Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama?
Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi,
n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”
 
11 Abajulizi abakambwe bagolokoka
ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14 ne mbeera mu nnaku
ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
ng’akaabira nnyina.
15 Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
ne bannumba nga simanyi,
ne bampayiriza obutata.
16 Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
ne bannumira obujiji.
17 Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
tobakkiriza kunziimuula.
20 Teboogera bya mirembe,
wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
“Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”
 
22 Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 Golokoka ojje onnyambe;
nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
tobaganya kunneeyagalirako.
25 Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”
 
26 Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
baswazibwe era banyoomebwe.
27 Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”
 
28 Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.