Zabbuli 43
1 Ayi Katonda, onnejjeereze  
omponye eggwanga eritatya Katonda  
ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.   
2 Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.  
Lwaki ondese?  
Lwaki ŋŋenda nkaaba  
nga nnyigirizibwa omulabe?   
3 Kale tuma omusana gwo n’amazima  
binnuŋŋamye;  
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,  
mu kifo mw’obeera.   
4 Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,  
eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.  
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,  
Ayi Katonda, Katonda wange.   
   
 
5 Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?  
Lwaki otabusetabuse munda yange?  
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,  
Omulokozi wange era Katonda wange.