Zabbuli 47
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. 
 
1 Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;  
muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;   
2 Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.  
Ye Kabaka afuga ensi yonna.   
3 Yatujeemululira abantu,  
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.   
4 Yatulondera omugabo gwaffe,  
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.   
   
 
5 Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.  
Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.   
6 Mutendereze Katonda, mumutendereze.  
Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.   
7 Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,  
mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.   
   
 
8 Katonda afuga amawanga gonna;  
afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.   
9 Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye  
ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;  
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.  
Katonda agulumizibwenga nnyo.