Zabbuli 61
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;  
wulira okusaba kwange.   
   
 
2 Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,  
omutima gwange nga gugenda gunafuwa.  
Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.   
3 Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.  
Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.   
   
 
4 Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;  
ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.   
5 Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:  
ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.   
   
 
6 Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;  
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,   
7 alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.  
Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.   
   
 
8 Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,  
nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.