Zabbuli 67
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba. 
 
1 Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,  
era otwakize amaaso go.   
2 Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,  
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.   
   
 
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,  
abantu bonna bakutenderezenga.   
4 Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.  
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,  
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.   
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,  
abantu bonna bakutenderezenga.   
   
 
6 Ensi erireeta amakungula gaayo;  
era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.   
7 Katonda anaatuwanga omukisa;  
n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.