Zabbuli 87
Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba. 
 
1 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.   
2 Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni  
okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.   
   
 
3 Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,  
ggwe ekibuga kya Katonda.   
4 “Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,  
ne Babulooni;  
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo  
ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”   
5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,  
“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”  
n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.   
6 Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,  
omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”   
   
 
7 Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,  
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”