Zabbuli 93
1 Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.  
Mukama ayambadde ekitiibwa  
era yeesibye amaanyi.  
Ensi yanywezebwa;  
teyinza kunyeenyezebwa.   
2 Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.  
Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.   
   
 
3 Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;  
ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,  
n’amazzi g’ennyanja gayira.   
4 Mukama, Ali Waggulu Ennyo,  
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;  
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.   
   
 
5 Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,  
n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,  
ennaku zonna.