Zabbuli 99
1 Mukama afuga,  
amawanga gakankane;  
atuula wakati wa bakerubi,  
ensi ekankane.   
2 Mukama mukulu mu Sayuuni;  
agulumizibwa mu mawanga gonna.   
3 Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.  
Mukama mutukuvu.   
   
 
4 Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.  
Onywezezza obwenkanya;  
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya  
era bituufu.   
5 Mumugulumize Mukama Katonda waffe;  
mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.  
Mukama mutukuvu.   
   
 
6 Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;  
ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;  
baasabanga Mukama  
n’abaanukula.   
7 Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;  
baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.   
   
 
8 Ayi Mukama Katonda waffe,  
wabaanukulanga;  
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,  
newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.   
9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,  
mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,  
kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.