7
Ekika kya Isakaali
1 Abaana ba Isakaali baali bana:
Tola, ne Puwa, ne Yasubu, ne Simuloni.
2 Batabani ba Tola baali
Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu b’enda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.
3 Uzzi n’azaala
Izulakiya.
Izulakiya n’azaala
Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu.
4 Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja b’amaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala n’abaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga.
5 Baganda baabwe bonna awamu abaali ab’ekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu.
Ekika kya Benyamini
6 Benyamini yalina abatabani basatu,
Bera, ne Bekeri ne Yediyayeri.
7 Batabani ba Bera baali
Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana.
8 Batabani ba Bekeri baali
Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi ne Alemesi. Bano be baali abaana ba Bekeri ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe.
9 Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri mu bibiri.
10 Mutabani wa Yediyayeri,
yali Birukani,
ate batabani ba Birukani nga be ba
Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi ne Akisakali.
11 Bano bonna baali bazzukulu ba Yediyayeri ate nga be bakulu b’enda zaabwe. Era baali abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri.
12 Abasuppimu n’Abakupimu baali bazzukulu ba Iri, ate ng’Abakusimu bazzukulu ba Akeri.
Ekika kya Nafutaali
13 Batabani ba Nafutaali baali
Yaziyeri, ne Guni, ne Yezeri ne Sallumu, era bano be bazzukulu ba Biruka.
Ekika kya Manase
14 Bano be baali bazzukulu ba Manase:
Asuliyeri ne Makiri mukyala we Omwalamu. Be yamuzaalira. Makiri n’azaala Gireyaadi.
15 Makiri n’awasa okuva mu Bakupimu n’Abasuppimu, n’erinnya lya mwannyina nga ye Maaka.
Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ng’alina baana ba buwala bokka.
16 Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu.
17 Mutabani wa Ulamu yali
Bedani,
era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase.
18 Mwannyina Kammolekisi n’azaala Isukondi, ne Abiyezeeri ne Makula.
19 Batabani ba Semida baali
Akyani, ne Sekemu, ne Liki ne Aniyamu.
Ekika kya Efulayimu
20 Mutabani wa Efulayimu yali
Susera, mutabani wa Susera nga ye Beredi, mutabani wa Beredi nga ye Takasi,
mutabani wa Takasi nga ye Ereyadda,
mutabani wa Ereyadda nga ye Takasi,
21 mutabani wa Takasi nga ye Zabadi,
ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera.
Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente.
22 Efulayimu n’abakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajja okumukungubagirako.
23 Awo Efulayimu n’amanya mukyala we, mukyala we n’azaala omwana owoobulenzi omulala, n’amutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana.
24 Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera.
25 Efulayimu yalinayo n’omutabani omulala erinnya lye Leefa, nga ye kitaawe wa Lesefu,
Lesefu n’azaala Teera, Teera n’azaala Takani,
26 Takani n’azaala Ladani, Ladani n’azaala Ammikudi,
Ladani n’azaala Erisaama,
27 Erisaama n’azaala Nuuni,
Nuuni n’azaala Yoswa.
28 Ettaka lyabwe n’ebifo we baasenga byali Beseri n’obubuga obutono obukyetoolodde, ebuvanjuba w’e Naalani, ebugwanjuba w’e Gezeri, n’obubuga bwakyo, n’e Sekemu n’obubuga bwakyo, okutuukira ddala ku Azza n’obubuga obukyetoolodde.
29 Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, n’e Taanaki, n’e Megiddo, n’e Doli n’obubuga obwali bubiriranye.
Ekika kya Aseri
30 Abaana ba Aseri baali
Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe.
31 Batabani ba Beriya baali
Keberi ne Malukiyeeri, ne Malukiyeeri nga ye kitaawe wa Biruzayisi.
32 Keberi n’azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu ne mwannyinaabwe Suwa.
33 Batabani ba Yafuleti baali
Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi.
34 Batabani ba Semeri baali
Aki, ne Loga, ne Yekubba ne Alamu.
35 Batabani ba muganda we Keremu baali Zofa, ne Imuna, ne Seresi ne Amali.
36 Batabani ba Zofa baali
Suwa, ne Kaluneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Imula,
37 ne Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani ne Beera.
38 Batabani ba Yeseri baali
Yefune, ne Pisupa ne Ala.
39 Batabani ba Ulla baali
Ala, ne Kanieri ne Liziya.
40 Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, n’abalala nga balwanyi abazira, n’abalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.