12
Ssaddaaka Ennamu
1 Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo.
2 So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.
3 Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza.
4 Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo.
5 Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.
6 Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri,
7 oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza;
8 oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga n’obunyiikivu, n’omulala okulaga ekisa nga musanyufu.
Okwagala
9 Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi,
10 nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,
11 mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama,
12 nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.
13 Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
14 Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga.
15 Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba.
16 Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
17 Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna.
18 Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna;
19 abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama.
20 “Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.”
21 Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.