16
Okulamusa
Kaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza w’ekkanisa* ey’omu Kenkereya. Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini.
Mundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu, abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olw’obulamu bwange, era si beebaza bokka wabula n’Ekkanisa z’Abamawanga zonna.
Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ng’ekkanisa mu maka gaabwe.
Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala eky’olubereberye eky’omu Asiya eri Kristo.
Mundabire Maliyamu eyabakolera ennyo.
Mundabire Anduloniiko ne Yuniya ab’ekika kyange, abaasibibwa awamu nange mu kkomera, era bassibwamu nnyo ekitiibwa abatume era be bansooka okubeera mu Kristo.
Mundabire Ampuliyaato omwagalwa wange mu Mukama waffe.
Mundabire Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, n’omwagalwa waffe Sutaku.
10 Mundabire Apere, asiimibwa mu Kristo.
Mundabire n’ab’omu nnyumba ya Alisutobulo.
11 Mundabire Kerodiyoni muganda wange.
Mundabire ab’omu nnyumba ya Nalukiso.
12 Mundabire Terufayina ne Terufoosa, abaakola ennyo omulimu gwa Mukama waffe.
Mundabire Perusi omwagalwa eyakola ennyo omulimu mu Mukama waffe.
13 Mundabire Luufo Mukama gwe yalonda, era ne nnyina ali nga mmange.
14 Mundabire Asunkulito ne Felegoni, ne Kerume, ne Patuloba, ne Keruma era n’abooluganda abali nabo.
15 Mundabire Firologo ne Yuliya, ne Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa n’abatukuvu bonna abali awamu nabo.
16 Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu.
Ekkanisa zonna eza Kristo, zibalamusizza.
Ebisembayo
17 Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’eby’esittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. 18 Kubanga abantu ng’abo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi eby’okuwaanawaana nga balimbalimba emitima gy’abanafu. 19 Kubanga amawulire ag’okuwulira kwammwe gaabuna mu bantu bonna, kyenvudde mbasanyukira. Naye njagala mubenga bagezi mu kukola obulungi, era abalongoofu abeewala ekibi.
 
20 Kaakano Katonda ow’emirembe ajja kubetentera Setaani wansi w’ebigere byammwe, mangu.
 
Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe.
 
21 Timoseewo mukozi munnange, ne Lukiyo ne Yasooni wamu ne Sosipateri, baganda bange, babatumidde.
22 Nange Terutiyo awandiika ebbaluwa eno, mbatumidde mu Mukama waffe.
23 Gaayo ansuza, n’ekkanisa yonna babalamusizza. Mundabire Erasuto omuwanika w’ekibuga, ne Kwaluto muganda we.
24 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.
Pawulo Abasiibula n’Okusaba
25 Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, 26 kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa, 27 Katonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina.
* 16:1 Foyibe yali mudiikoni mu kkanisa eyo 16:22 Terutiyo ye yakubanga tayipu nga Pawulo awandiika ebbaluwa ze 16:23 Gaayo yandiba Gaayo ow’omu 1Ko 1:14, Pawulo gwe yabatiza