18
Okugwa kwa Babulooni
1 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu n’obuyinza obungi ennyo era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye yalina.
2 N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde!
Kifuuse empuku ya baddayimooni,
n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu,
n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu,
n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
3 Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe.
Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye.
Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna
bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”
4 Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti,
“ ‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’
muleme kwegatta mu bibi bye,
muleme kubonerezebwa wamu naye.
5 Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu,
era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.
6 Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala;
mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi.
Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.
7 Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya,
bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze,
kubanga ayogera mu mutima gwe nti,
‘Ntudde nga kabaka omukazi,
siri nnamwandu,
era sirina nnaku.’
8 Noolwekyo ebibonyoobonyo eby’okufa n’okukaaba n’enjala birimujjira mu lunaku lumu,
era alizikirizibwa n’omuliro;
kubanga Mukama Katonda
amusalidde omusango.
9 “Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa.
10 Baliyimirira wala nga bakankana olw’okutya era nga boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“ ‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu!
Ekibuga eky’amaanyi,
Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’
11 “Abasuubuzi b’omu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe.
12 Ebyamaguzi ebya zaabu, n’ebya ffeeza, n’eby’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, n’eby’engoye eza linena, n’eza kakobe, n’eza liiri, n’emyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, n’ebintu eby’amasanga, na buli kika eky’emiti egy’omuwendo ennyo, n’ebikomo, n’ebyuma awamu n’amayinja aga mabbo;
13 n’ebyakaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envinnyo, n’amafuta, n’obuwunga bw’eŋŋaano obulungi; n’ente, n’endiga; n’embalaasi, n’amagaali; n’abaddu n’emyoyo gyabwe.
14 “Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna eby’omuwendo omungi n’eby’okwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.”
15 Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olw’okubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olw’okutya okubonaabona kwe, n’okukaaba kwe, n’okunakuwala kwe,
16 nga bagamba nti,
“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu,
ekifaanana ng’omukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, n’eza kakobe, n’emyufu,
era ng’ataddemu eby’omu bulago ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu.
17 Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!’
“Era abo bonna abalina emmeeri ez’eby’obusuubuzi awamu n’abagoba baazo, n’abo abazikolamu, baayimirira wala.
18 Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’
19 Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti,
“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu!
Kyabagaggawaza bonna
abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu,
naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’
20 “Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olw’okubonerezebwa kwe,
nammwe abatukuvu
ne bannabbi n’abatume musanyuke.
Kubanga Katonda amusalidde omusango
ku lwammwe.”
21 Awo malayika omu ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene eriri ng’olubengo n’alisuula mu nnyanja nga bw’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Bwe kityo Babulooni,
ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi n’amaanyi,
era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.
22 Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi,
n’abakubi b’ennanga n’ery’abafuuyi b’endere, n’ery’abafuuyi b’eŋŋombe.
Mu ggwe temulisangibwamu muweesi
wadde okuweesa okw’engeri yonna,
newaakubadde okuvuga kw’olubengo nga basa
tekuliwulirwa mu ggwe.
23 Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka
tekirirabikira mu ggwe nate,
kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna,
era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.
24 Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi,
n’abo bonna abattibwa ku nsi.”