20
Emyaka Olukumi
1 Awo ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu ng’alina ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma era ng’alina olujegere oluzito mu mukono gwe.
2 N’akwata ogusota guli ogw’edda, ye Setaani, n’agusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi,
3 n’agusuula mu bunnya obutakoma era n’agusibiramu n’ateekako n’envumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ng’asumululwa okumala akaseera katono.
4 Awo ne ndaba entebe ez’obwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gy’abo abaatemebwako emitwe olw’okunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi.
5 Naye abafu abalala tebaazuukira okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okusooka.
6 Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.
Setaani Azikirizibwa
7 Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye.
8 Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja.
9 Ne bambuka basale olusenyi olunene olw’ensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lw’ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo.
10 Awo Setaani eyabalimbalimba n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi ow’obulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana n’ekiro emirembe n’emirembe.
Abafu Balamulwa
11 Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka.
12 Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali.
13 Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali.
14 Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri.
15 Era buli eyasangibwa ng’erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.