9
Awo malayika owookutaano n’afuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ng’eva mu ggulu ng’egwa ku nsi era n’eweebwa ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma. Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ng’oguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olw’omukka ogw’omu bunnya. Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ng’enjaba ez’obusagwa. Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe. Tezaagambibwa kubatta wabula okubabonyaabonya okumala emyezi etaano nga zibaluma bulumi, ng’obulumi bwazo buli ng’obuva mu kubojjebwa enjaba ez’obusagwa. Mu biro ebyo abantu balyagala okwetta naye tekirisoboka kubanga okufa kuliba kubeesamba; balyegomba okufa naye kwo, nga kubadduka buddusi!
Enzige zino zaali zifaanana ng’embalaasi ezitegekeddwa okugenda ku lutalo okulwana, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng’okutikkiddwa engule za zaabu ate ebyenyi byazo nga biri ng’eby’abantu. Obwoya bwazo nga buli ng’enviiri z’abakazi, ate go amannyo gaazo gaali ng’ag’empologoma. Zaali zambadde eby’omu bifuba ebiri ng’eby’ebyuma, nga n’ebiwaawaatiro byazo biwuluguma ng’eddoboozi lya nnamuziga w’amagaali, ag’embalaasi ennyingi nga zifubutuka okulaga mu lutalo. 10 Zaalina emikira egibojja ng’egy’enjaba ez’obusagwa. N’obuyinza bwazo obw’okubonyaabonya obwaziweebwa obw’emyezi etaano bwali mu mikira omwo. 11 Kabaka waazo ye malayika ow’obunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni* ate mu Luyonaani ye Apolwoni.
12 Eky’entiisa ekisooka ne kiyita, naye ng’ekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja!
13 Awo malayika ow’omukaaga n’afuuwa ekkondeere lye, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda, 14 nga ligamba malayika oyo ow’omukaaga nti, “Sumulula bamalayika abana abaasibirwa ku mugga omunene Fulaati.” 15 Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka n’omwezi ogwo, n’olunaku olwo, n’essaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu. 16 Ne mpulira omuwendo ogw’eggye ery’abaserikale nga bali obukadde ebikumi bibiri.
17 Ne ndaba mu kwolesebwa, ng’embalaasi n’abaali bazeebagadde nga bambadde eby’omu bifuba ebimyufu, era mwalimu n’abambadde ebya bbululu n’ebya kyenvu. Emitwe gy’embalaasi gyali gifaanana ng’egy’empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muvaamu omuliro n’omukka ne salufa. 18 Ebibonyoobonyo ebyo ebisatu: Omukka n’omuliro n’obuganga ebyava mu bumwa bwazo ne bitta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu. 19 Amaanyi gaazo ag’okutta tegaali mu bumwa bwazo mwokka, naye gaali ne mu mikira gyazo, kubanga emikira egyo gyali ng’emitwe gy’emisota, nga gye zibojjesa.
20 Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lw’ebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’eby’ebikomo, n’eby’amayinja n’omuti, ebitalaba yadde okuwulira so n’okutambula tebitambula. 21 Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.
* 9:11 Abadoni kitegeeza muzikiriza 9:11 Apolwoni kitegeeza nnamuzisa