24
Dawudi Asaasira Sawulo n’atamutta
1 Awo Sawulo bwe yakomawo ng’ava okugoba Abafirisuuti, ne bamutegeeza nti, “Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.”
2 Sawulo n’alonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri yenna, n’agenda nabo okunoonya Dawudi n’abasajja be, ku luuyi olw’enjazi embulabuzi gye Zaabeeranga.
3 Sawulo n’atuuka okumpi n’awaali ebisibo by’endiga ebyali ku mabbali g’ekkubo, n’alaba empuku, n’ayingira omwo okuwummulako. Dawudi n’abasajja be baali mu mpuku omwo mu bifo ebikomererayo.
4 Awo abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yayogerako bwe yagamba nti, ‘Ndiwaayo omulabe wo mu mukono gwo, omukole nga bw’osiima.’ ” Dawudi n’asooba mpola n’asala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo.
5 Naye oluvannyuma Dawudi n’awulira okulumirizibwa mu mutima olw’okusala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo.
6 N’agamba abasajja be nti, “Kikafuuwe, nze okukola mukama wange ekintu ekifaanana bwe kityo, Mukama gwe yafukako amafuta, wadde okumugololerako omukono, kubanga Mukama yamufukako amafuta.”
7 N’ebigambo ebyo Dawudi n’aziyiza abasajja be n’atabakkiriza kulumba Sawulo. Awo Sawulo n’ava mu mpuku, n’agenda.
8 Oluvannyuma, Dawudi naye n’afuluma empuku, n’akoowoola Sawulo ng’ayogera nti, “Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo n’akyuka n’atunula emabega, Dawudi n’avuunama n’akka wansi ne yeeyala ku ttaka.
9 Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Lwaki owuliriza eŋŋambo z’abantu aboogera nti, ‘Dawudi amaliridde okukukola akabi?’
10 Leero okirabye n’amaaso go, Mukama bw’akumpadde mu mukono gwange ng’oli mu mpuku. Wabaddewo ababadde banneegayirira nkutte, naye ne sibawuliriza. Nagambye nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange, kubanga Mukama yamufukako amafuta.’
11 Kitange laba, akatundu ke naggye ku kirenge ky’ekyambalo kyo. Nasaze busazi ku kyambalo kyo naye ne sikutta. Kaakano kitegeere era okimanye nga sikusobyanga newaakubadde okukujeemera. Sinnakusobya newaakubadde ng’onjigganya okunzita.
12 Mukama alamule wakati wange naawe. Mukama akusasule ng’ebikolwa ebibi byonna by’onkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe.
13 Ng’olugero olw’ab’edda bwe baalugera nti, ‘Mu babi mwe muva akabi,’ kyendiva sikuyimusiza mukono gwange.
14 Kabaka wa Isirayiri ajjiridde ani? Ani gw’oyigganya? Mbwa nfu oba nkukunyi?
15 Mukama atulamule, asalewo wakati wo nange. Mukama atunuulire ensonga yange andokole mu mukono gwo.”
16 Awo Dawudi bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, Sawulo n’abuuza nti, “Eryo ddoboozi lyo, Dawudi mutabani wange?” Sawulo n’akuba ebiwoobe.
17 N’agamba Dawudi nti, “Ggwe oli mutuukirivu okunsinga, kubanga onsasudde bulungi, newaakubadde nga nze nkuyisizza bubi.
18 Leero ontegeezezza bw’onkoze obulungi, bw’otanzise ate nga Mukama yampaddeyo mu mukono gwo.
19 Omuntu bw’asiŋŋaana omulabe we, ayinza okumuganya okugenda nga tamutuusizzaako bisago? Kale Mukama akusasule bulungi olw’ekikolwa ky’onkoze leero.
20 Kaakano ntegeeredde ddala ng’onoobeera kabaka, era n’obwakabaka bwa Isirayiri bulinywezebwa mu mukono gwo.
21 Kale nno ndayirira eri Mukama, nga tolizikiriza bazzukulu bange newaakubadde okusaanyaawo erinnya lyange mu nnyumba ya kitange.”
22 Awo Dawudi n’alayirira Sawulo. Sawulo n’addayo ewuwe, naye Dawudi ne basajja be ne baddayo mu kifo gye baali beekwese.