Zabbuli 116
Mukama mmwagala,
kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.
 
Emiguwa gy’okufa gyansiba,
n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
“Ayi Mukama, ndokola.”
 
Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
Katonda waffe ajjudde okusaasira.
Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.
 
Wummula ggwe emmeeme yange,
kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
mu nsi ey’abalamu.
 
10 Nakkiriza kyennava njogera nti,
“Numizibbwa nnyo.”
11 Ne njogera nga nterebuse nti,
“Abantu bonna baliraba.”
 
12 Mukama ndimusasula ntya
olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna.
 
15 Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 Ayi Mukama,
onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
 
17 Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna,
19 mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
wakati wo, ggwe Yerusaalemi.
 
Mutendereze Mukama.