Zabbuli 149
 1 Mutendereze Mukama!  
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,  
mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.   
 2 Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;  
n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!   
 3 Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,  
bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.   
 4 Kubanga Mukama asanyukira abantu be,  
n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.   
 5 Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;  
bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.   
 6 Batenderezenga Katonda waabwe,  
bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,   
 7 bawoolere eggwanga,  
babonereze n’amawanga,   
 8 bateeke bakabaka baago mu njegere,  
n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,   
 9 babasalire omusango ogwabawandiikirwa.  
Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.  
Mutendereze Mukama.