Zabbuli 150
 1 Mutendereze Mukama!  
Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;  
mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.   
 2 Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;  
mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.   
 3 Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,  
mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.   
 4 Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;  
mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!   
 5 Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;  
mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!   
 6 Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!  
Mutendereze Mukama.