18
Omwoyo Ogwonoona gwe Gulifa
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, “Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti,
“ ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa,
n’amannyo g’abaana ganyenyeera’?
“Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri. Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange.
“Emmeeme eyonoona ye erifa,
omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu;
nga talya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri;
n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we,
newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala;
omuntu atalyazaamaanya muntu yenna,
naye asasula ebbanja lye lyonna,
atanyaga muntu yenna,
naye emmere ye agigabira abayala,
n’ayambaza n’abali obwereere;
atawola lwa magoba
newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola.
Yeewala okukola ekibi,
era asala emisango egy’ensonga.
Agoberera ebiragiro byange,
n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa,
oyo ye muntu omutuukirivu
era aliba mulamu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
10 “Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo, 11 newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola:
“N’alya mu masabo agali ku nsozi,
n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we,
12 n’anyigiriza omwavu n’omunaku,
n’okubba n’abba,
n’atasasula kye yeeyama,
n’asinza bakatonda abalala,
n’akola eby’ekivve,
13 n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola;
omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
14 “Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo;
15 “N’atalya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri,
n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we,
16 atanyigiriza muntu yenna
newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola,
atabba, naye agabira emmere abayala
n’abali obwereere
n’abambaza.
17 Yeekuuma obutakola kibi,
n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde,
era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange.
Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu. 18 Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne.
19 “Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu. 20 Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
21 “Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. 22 Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. 23 Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu?
24 “Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa.
25 “Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya? 26 Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa. 27 Naye bw’alikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bw’akoze, n’akola eby’ensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. 28 Era bw’alirowooza ku bibi byonna by’akoze, n’akyuka n’alekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 29 Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?
30 “Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. 31 Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? 32 Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”