19
Okukungubagira Abalangira ba Isirayiri
1 Kungubagira abalangira ba Isirayiri,
2 oyogere nti,
“ ‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi,
mu mpologoma!
Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento,
n’erabirira abaana baayo.
3 N’ekuza emu ku baana baayo
n’efuuka empologoma ey’amaanyi,
n’eyiga okuyigga ebisolo,
n’okulya abantu.
4 Amawanga gaawulira ebimufaako,
n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye,
ne bamusibamu amalobo
ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.
5 “ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde,
ne bye yali alindirira nga biyise,
n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala,
n’egifuula empologoma ey’amaanyi.
6 N’etambulatambula mu mpologoma,
kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi,
era n’eyiga okuyigga ensolo,
n’okulya abantu.
7 N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi,
n’ezikiriza n’ebibuga byabwe;
ensi n’abo bonna abaagibeerangamu,
ne batya olw’okuwuluguma kwayo.
8 Awo amawanga gonna ne gagirumba,
okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo,
ne bayanjuluza ekitimba kyabwe,
ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
9 Ne bakozesa amalobo okugisikayo,
ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma,
ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni;
n’eteekebwa mu kkomera,
n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.
10 “ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro
ogwasimbibwa okumpi n’amazzi;
ne gubala ebibala ne bijjula amatabi,
kubanga waaliwo amazzi mangi.
11 Amatabi gaagwo gaali magumu,
era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka.
Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu
okusinga emiti emirala,
ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo,
n’olw’amatabi gaagwo amangi.
12 Naye gwasigulibwa n’ekiruyi
ne gusuulibwa wansi;
embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza,
ebibala byagwo ne biggwaako,
n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala,
era ne gwokebwa omuliro.
13 Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,
awakalu awatali mazzi.
14 Omuliro gwava ku limu ku matabi,
ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo.
Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo
eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’
Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”