10
Obwatiikirivu bwa Moluddekaayi
1 Kabaka Akaswero n’asalira abantu bonna ab’obwakabaka bwe omusolo, abaabeeranga ku lukalu n’abo abaabeeranga ku bizinga.
2 Era ebikolwa bye byonna eby’obuyinza n’amaanyi ge, n’okutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi, Kabaka bwe yamukuza, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka b’e Bumeedi n’e Buperusi.
3 Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali addirira Kabaka Akaswero mu buyinza, era yali mukulu mu Bayudaaya ate nga bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga yakolanga bulungi abantu be, ate era ng’ayagaliza ezzadde lye lyonna emirembe.