9
1 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa.
2 Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna.
3 Awo abakungu bonna ab’ebitundu, n’abaamasaza, ne bagavana n’abasigire ba kabaka abaafuganga ne bayamba Abayudaaya, kubanga entiisa yali ebakutte olwa Moluddekaayi.
4 Moluddekaayi yali akulaakulanye mu lubiri, era n’ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna ebitundu byonna, ate era ne yeeyongera amaanyi n’obuyinza.
5 Awo Abayudaaya ne batta era ne bazikiriza abalabe baabwe bonna n’ekitala, era ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa.
6 Mu lubiri olw’e Susani, Abayudaaya batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bitaano.
7 Ate era batta Palusandasa, ne Dalufoni, ne Asupasa,
8 Polasa, ne Adaliya, ne Alidasa,
9 Palumasuta, ne Alisayi, ne Alidayi, ne Vaizasa
10 abatabani ekkumi aba Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe w’Abayudaaya. Naye tebaakwata ku munyago.
11 Ku lunaku olwo, Kabaka n’ategeezebwa omuwendo gw’abo abattibwa mu lubiri e Susani.
12 Awo Kabaka n’agamba Nnabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse era bazikirizza abasajja ebikumi bitaano, ate era ne batabani ba Kamani ekkumi nabo battiddwa. Kale kyenkana wa kye bakoze mu bitundu bya Kabaka ebirala? Kiki ky’osaba kaakano? Onookiweebwa. Era kiki kye weegayirira? Kale n’akyo kinaakolebwa.”
13 Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, enkya Abayudaaya baweebwe olukusa okukola nga ekiragiro ekya leero bwe kibadde era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi giwanikibwe ku miti.”
14 Amangwago Kabaka n’alagira kikolebwe. Ekiragiro ne kirangirirwa mu Susani, era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi ne giwanikibwa.
15 Awo ku lunaku olw’ekkumi n’enya mu mwezi ogwa Adali, Abayudaaya mu Susani ne beekuŋŋaanya, era ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani, naye ne batakwata ku munyago.
16 Mu kiseera kyekimu Abayudaaya abalala abaali mu bitundu bya Kabaka nabo ne bakuŋŋaana okwerwanirira, n’okufuna ne bafuna okuwummula eri abalabe baabwe. Ne batta emitwalo nsanvu mu etaano ku bo naye ne batakwata ku munyago.
17 Bino byabaawo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula era ne balufuula lunaku lwa kuliirangako mbaga n’olw’okusanyukirangako.
Entandikwa y’Embaga Eyitibwa Pulimu
18 Abayudaaya ab’omu Susani ne bakuŋŋaananga ku lunaku olw’ekkumi n’essatu ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, ate ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako.
19 Abayudaaya ab’omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi Adali okuba olunaku okuliirangako embaga n’olw’okusanyukirangako, era olunaku olw’okuweerazaganirako ebirabo.
20 Awo Moluddekaayi n’awandiika ebyabaawo byonna, era n’aweereza Abayudaaya bonna abaali mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero ebbaluwa, mu matwale ag’okumpi n’agewala,
21 ng’abalagira okukuumanga olunaku olw’ekkumi n’ennya n’olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwa Adali nga lwa mbaga,
22 era nga kye kiseera Abayudaaya kye baafunirako eddembe eri abalabe baabwe, ate era nga gwe mwezi obuyinike bwabwe lwe bwafuulibwa essanyu, n’okunakuwala kwabwe ne kukoma. Moluddekaayi n’abiwandiika okujjukira ennaku ezo ng’ennaku ez’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako, ate era n’okuweerezaganya ebyokulya ebirungi, era n’okugabiranga abaavu ebirabo.
23 Awo Abayudaaya ne basuubiza okukola nga bwe baatandika, nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira.
24 Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya bonna, yali asalidde Abayudaaya olukwe okubazikiriza, era ng’akubye akalulu Puli, okubasaanyaawo n’okubazikiriza.
25 Naye Eseza bwe yakimanyisa Kabaka, Kabaka n’awa ekiragiro mu buwandiike nti olukwe olubi Kamani lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe, era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kalabba.
26 Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng’erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw’ebigambo byonna ebyawandiikibwa mu bbaluwa, n’olw’ebyo bye baalaba, n’ebyabatuukako,
27 Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza, era ne basuubiriza ezzadde lyabwe n’abo bonna abanaabeegattangako, nti awatali kwekwasa nsonga yonna, bateekwa okukwatanga ennaku ezo zombi buli mwaka ng’ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng’ebiro byazo bwe byali.
28 Ennaku ezo zijjukirwenga ku mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza era na buli kibuga, era ennaku zino eza Pulimu, Abayudaaya tebalekangayo okuzijagulizaangako, wadde okuzeerabira.
29 Awo Nnabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n’obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyookubiri eya Pulimu.
30 Ebbaluwa ne ziweerezebwa, mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) eby’obwakabaka bwa Akaswero,
31 n’okuwa ebiragiro nti ennaku ezo eza Pulimu zikuumibwenga mu biro byazo nga Omuyudaaya Moluddekaayi ne Nnabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeyama bo bennyini n’ezzadde lyabwe okusinziira ku biseera byabwe bye baayitamu eby’okusiiba n’okukungubaga.
32 Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu, era ne kiwandiikibwa mu byafaayo.