60
Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja
1 “Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
2 Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza
era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,
naye ggwe Mukama alikwakirako
era ekitiibwa kye kikulabikeko.
3 Amawanga galijja eri omusana gwo
ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.
4 “Yimusa amaaso go olabe;
abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli
batabani bo abava ewala ne bawala bo
abasituliddwa mu mikono.
5 Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
6 Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
okulangirira ettendo lya Katonda.
7 N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.
8 “Bano baani abaseyeeya nga ebire,
ng’amayiba agadda mu bisu byago?
9 Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;
ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde
bireete batabani bammwe okubaggya ewala
awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,
olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri,
kubanga akufudde ow’ekitiibwa.
10 “Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,
era bakabaka baabwe bakuweereze;
Olw’obusungu bwange, nakukuba,
naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,
emisana n’ekiro tegiggalwenga,
abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe
nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
12 Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.
Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.
13 “Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,
emiti egy’ettendo egy’enfugo,
omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange,
ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;
era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.
Balikuyita kibuga kya Katonda,
Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.
15 “Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa,
nga tewali n’omu akuyitamu,
ndikufuula ow’ettendo,
essanyu ery’emirembe gyonna.
16 Olinywa amata ag’amawanga.
Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga,
era olimanyira ddala nti,
Nze, nze Mukama,
nze Mulokozi wo era Omununuzi wo,
ow’Amaanyi owa Yakobo.
17 Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu,
mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza,
mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo,
ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma.
Emirembe gye girifuuka omufuzi wo
n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
18 Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo,
wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo.
Ebisenge byo olibiyita Bulokozi,
Era n’enzigi zo, Kutendereza.
19 Enjuba si yeenekumulisizanga emisana,
oba omwezi okukumulisizanga ekiro.
Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe,
era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
20 Enjuba yo terigwa nate,
n’omwezi gwo tegulibula;
Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe
era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.
21 Abantu bo babeere batuukirivu,
ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe.
Ekisimbe kye nnesimbira;
omulimu gw’emikono gyange,
olw’okulaga ekitiibwa kyange.
22 Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi,
n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi.
Nze Mukama,
ndikyanguya mu biseera byakyo.”