61
Amawulire Amalungi ag’Obulokozi 
 
1 Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,  
kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,  
antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.  
Okulangirira eddembe eri abawambe,  
n’abasibe bateebwe  
bave mu makomera.   
2 Okulangirira omwaka gwa Mukama  
ogw’okulabiramu obulungi bwe;  
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga  
era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.   
3 Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,  
okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,  
n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.  
Ekyambalo ky’okutendereza  
mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa  
balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,  
balyoke baweebwe ekitiibwa.   
   
 
4 Baliddamu  
bazimbe ebyali bizise,  
balirongoosa ebibuga  
ebyali byerabirwa edda.   
5 Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe,  
abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.   
6 Era muyitibwe bakabona ba Mukama,  
abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama,  
mulirya obugagga bw’amawanga,  
era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.   
   
 
7 Mu kifo ky’ensonyi,  
abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri.  
Mu kifo ky’okuswala  
basanyuke olw’ebyo bye balifuna  
era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri,  
essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.   
   
 
8 “Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya,  
nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu.  
Mu bwesigwa bwange ndibasasula  
era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.   
9 N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga  
n’abaana baabwe eri abantu.  
Abo bonna abalibalaba balibamanya,  
nti bantu Mukama be yawa omukisa.”   
   
 
10 Nsanyukira nnyo mu Mukama,  
emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.  
Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi  
era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,  
ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,  
ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.   
11 Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera,  
era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka,  
bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka,  
ensi zonna zikirabe.