11
Zofali Ayogera
Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti,
“Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu?
Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango?
Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa?
Oduule bw’otyo wabulewo akunenya?
Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi,
era ndi mutukuvu mu maaso go.’
Naye, singa Katonda ayogera,
singa abikkula akamwa ke n’akuddamu,
n’akubikkulira ebyama by’amagezi;
kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri.
Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.
 
“Osobola okupima ebyama bya Katonda?
Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?
Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola?
Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya?
Obuwanvu bwabyo businga ensi
era bugazi okusinga ennyanja.
 
10 “Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko,
ani ayinza okumuwakanya?
11 Mazima ddala amanya abantu abalimba.
Bw’alaba ebibi, tabifaako?
12 Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi,
ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.
 
13 “Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali,
n’ogolola emikono gyo gy’ali,
14 singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo,
n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo,
15 olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi,
era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.
16 Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo,
olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.
17 Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu,
n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.
18 Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;
olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
19 Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,
era bangi abalikunoonyaako omukisa.
20 Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa,
era tebalisobola kuwona,
essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.”