12
Yobu Ayanukula
1 Awo Yobu n’amuddamu nti,
2 “Awatali kubuusabuusa muli bantu.
Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa.
3 Naye nange nnina amagezi ntegeera,
temunsinga.
Ani atabimanyi ebyo byonna?
4 Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange.
Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu,
ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
5 Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana,
ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.
6 Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana,
era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe
abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.
7 Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza,
oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira.
8 Oba yogera n’ettaka linaakusomesa
oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola.
9 Biki ku bino ebitamanyi nti,
omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?
10 Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe,
na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
11 Okutu tekugezesa bigambo
ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?
12 Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye?
Okuwangaala tekuleeta kutegeera?
13 Katonda y’alina amagezi n’amaanyi;
y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.
14 Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba;
ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.
15 Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja,
bw’agata gazikiriza ensi.
16 Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi,
abalimba n’abalimbibwa bonna babe.
17 Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu,
abalamuzi n’abafuula abasirusiru.
18 Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe,
n’abasibamu obukete.
19 Bakabona abatwala nga tebalina kantu,
n’asuula abasajja abaanywera.
20 Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa,
era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde.
21 Ayiwa ekivume ku bakungu,
era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi.
22 Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza,
n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala.
23 Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza;
agaziya amawanga n’agasaasaanya.
24 Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde;
n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.
25 Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala;
abaleetera okutagala ng’abatamiivu.”