13
“Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,
n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.
Kye mumanyi nange kye mmanyi;
siri wa wansi ku mmwe.
Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna,
era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
Naye mmwe mumpayiriza;
muli basawo abatagasa mmwe mwenna!
Kale singa musirika!
Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.
Muwulire kaakano endowooza yange,
muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.
Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu?
Munaamwogerera eby’obulimba?
Munaamulaga ng’ataliiko luuyi,
munaamuwoleza ensonga ze.
Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi?
Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?
10 Tayinza butakunenya,
singa osaliriza mu bubba.
11 Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza?
Entiisa ye teyandikuguddeko?
12 Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,
n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.
13 Musirike nze njogere;
kyonna ekinantukako kale kintuukeko.
14 Lwaki neeteeka mu mitawaana,
obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?
15 Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi,
ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
16 Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange,
kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!
17 Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza;
amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.
18 Kaakano nga bwe ntegese empoza yange,
mmanyi nti nzija kwejeerera.
19 Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa?
Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.
20 Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda,
awo sijja kukwekweka.
21 Nzigyako omukono gwo,
olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga.
22 Kale nno ompite nzija kukuddamu,
oba leka njogere ggwe onziremu.
23 Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze?
Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange.
24 Lwaki okweka amaaso go,
n’onfuula omulabe wo?
25 Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga?
Onooyigga ebisasiro ebikaze?
26 Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma,
n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.
27 Oteeka ebigere byange mu nvuba,
era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita
ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.
28 Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu,
ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”