42
Yobu Yeenenya nga Yeeyiyeeko Enfuufu ne Vvu
1 Awo Yobu n’addamu Mukama nti,
2 “Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna,
era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.
3 Wabuuza nti, ‘Ani ono aziyiza okuteesa kwange atalina magezi?’
Mazima ddala nayogera ebintu bye sitegeera,
ebintu ebyassukirira okutegeera kwange.
4 “Wulira nkwegayiridde,
nange mbeeko kye nkubuuza,
onziremu.
5 Amatu gange gaali gaakuwulirako dda,
naye kaakano amaaso gange gakulabye.
6 Kyenvudde neenyooma
era neenenyezza mu nfuufu ne mu vvu.”
7 Nga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, n’agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ng’omuddu wange Yobu bw’akoze.
8 Noolwekyo kaakano mutwale ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, mweweereyo eyo ekiweebwayo ekyokebwa, n’omuddu wange Yobu ajja kubasabira, kubanga nzija kukkiriza okusaba kwe nneme okubakolako ng’obusirusiru bwammwe bwe buli. Kubanga temwanjogerako bituufu ng’omuddu wange bw’akoze.”
9 Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu.
10 Awo Mukama n’aggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama n’awa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka.
11 Awo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja n’abo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, n’empeta ya zaabu.
12 Awo Mukama n’awa Yobu omukisa mu nnaku ze ezaasembayo n’okusinga entandikwa ye bwe yali: yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n’eŋŋamira kakaaga, ne ziseddume z’ente lukumi, n’endogoyi enkazi lukumi.
13 Era Mukama n’amuwa n’abaana aboobulenzi musanvu, n’aboobuwala basatu.
14 Omuwala ow’olubereberye n’amutuuma Yemima, n’owokubiri n’amutuuma Keeziya, n’owookusatu n’amutuuma Keremukappuki, n’aboobulezi musanvu.
15 Awo mu nsi yonna ne wataba bakazi balungi kwenkana bawala ba Yobu. Kitaabwe n’abawa omugabo ogw’ebintu ogwenkanankana ne gwe yawa bannyinaabwe abalenzi.
16 Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’awangaala emyaka kikumi mu ana; n’alaba ku baana be ne ku bazzukulu be okutuuka ku bannakasatwe.
17 N’oluvannyuma n’afa ng’akaddiyidde ddala ng’awezezza emyaka mingi.