Zabbuli   
EKITABO I  
 1
Zabbuli 1–41  
1 Alina omukisa omuntu  
atatambulira mu kuteesa kw’ababi,  
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,  
newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.   
2 Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,  
era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.   
3 Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,  
ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,  
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.  
Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.   
   
 
4 Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.  
Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.   
5 Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;  
newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.   
   
 
6 Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,  
naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.