Zabbuli 2
1 Lwaki amawanga geegugunga  
n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?   
2 Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,  
n’abafuzi ne bateeseza wamu  
ku Mukama  
ne ku Kristo we, nga bagamba nti,   
3 “Ka tukutule enjegere zaabwe,  
era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”   
   
 
4 Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,  
abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.   
5 N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,  
n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.   
6 N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange  
ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”   
7 Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:  
kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,  
olwa leero nfuuse kitaawo.   
8 Nsaba,  
nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,  
era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.   
9 Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,  
era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”   
   
 
10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;  
muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.   
11 Muweereze Mukama nga mumutya,  
era musanyuke n’okukankana.   
12 Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira  
n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;  
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.  
Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.