Zabbuli 3
Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu. 
 
1 Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!  
Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!   
2 Bangi abanjogerako nti,  
“Katonda tagenda kumununula.”   
   
 
3 Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;  
ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.   
4 Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,  
n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.   
   
 
5 Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,  
kubanga Mukama ye ampanirira.   
6 Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange  
abanneetoolodde, okunnumba.   
   
 
7 Golokoka, Ayi Mukama,  
ondokole Ayi Katonda wange  
okube abalabe bange bonna  
omenye oluba lw’abakola ebibi.   
   
 
8 Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.  
Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.