Zabbuli 4
Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Bwe nkukoowoola onnyanukule,  
Ayi Katonda wange omutuukirivu.  
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.  
Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.   
   
 
2 Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?  
Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?   
3 Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.  
Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.   
   
 
4 Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,  
mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.   
5 Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;  
era mwesigenga Mukama.   
   
 
6 Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,  
otumulisize omusana gw’amaaso go.”   
7 Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange  
erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.   
   
 
8 Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;  
kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,  
ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.