Zabbuli 5
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;  
olowooze ku kunyolwa kwange.   
2 Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,  
Ayi Kabaka wange era Katonda wange:  
kubanga ggwe gwe nsaba.   
   
 
3 Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;  
buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,  
ne nnindirira onziremu.   
4 Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:  
n’ebitasaana tobigumiikiriza.   
5 Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:  
kubanga okyawa abakola ebibi bonna.   
6 Abalimba bonna obazikiriza;  
Mukama akyawa abatemu  
era n’abalimba.   
7 Naye olw’ekisa kyo ekingi,  
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:  
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu  
n’okutya okungi.   
   
 
8 Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,  
olw’abalabe bange,  
ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.   
9 Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;  
emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.  
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:  
akamwa kaabwe koogera bya bulimba.   
10 Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;  
baleke bagwe mu mitego gyabwe.  
Bagobe  
kubanga baakujeemera.   
11 Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;  
ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,  
obakuumenga,  
abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.   
   
 
12 Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;  
era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.