47
Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti 
 
1 Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:   
   
 
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,  
“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,  
galifuuka omugga ogwanjaala.  
Galyanjaala ku nsi  
ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.  
Abantu balikaaba;  
bonna abali mu nsi baliwowoggana.   
3 Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka  
n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe  
era n’okuwuuma kwa nnamuziga,  
bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,  
emikono gyabwe gya kulebera.   
4 Kubanga olunaku lutuuse  
okuzikiriza Abafirisuuti bonna,  
n’okusalako bonna abandisigaddewo  
abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.  
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti  
abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.   
5 Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.  
Asukulooni alisirisibwa.  
Ggwe eyasigala mu kiwonvu,  
olituusa ddi okwesalaasala?   
   
 
6 “ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,  
obudde bunaatuuka ddi owummule?  
Ddayo mu kiraato kyo  
sirika teweenyeenya.’   
7 Naye kiyinza kitya okuwummula  
nga Mukama y’akiragidde,  
ng’akiragidde  
okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”