48
Obubaka Obukwata ku Mowaabu
Ebikwata ku Mowaabu:
 
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,
Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,
ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;
mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,
‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’
Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,
n’ekitala kirikugoberera.
Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,
okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
Mowaabu alimenyebwa;
abawere ne bakaaba.
Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,
nga bwe bakungubaga
ku luguudo olugenda e Kolonayimu,
emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;
mubeere ng’ebisaka mu ddungu.
Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,
nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,
ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse
awamu ne bakabona be n’abakungu be.
Omuzikiriza alirumba buli kibuga,
era tewali kibuga kiriwona.
Ekiwonvu kiryonoonebwa
n’olusenyu luzikirizibwe
kubanga Mukama ayogedde.
Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende
kubanga alifuuka matongo,
ebibuga bye birizikirizibwa,
nga tewali abibeeramu.
 
10 “Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda.
Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.
 
11 “Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,
nga wayini gwe batasengezze,
gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,
tagenzeko mu buwaŋŋanguse.
Kale awooma ng’edda,
n’akawoowo ke tekakyukanga.
12 Naye ennaku zijja,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,
era balimuyiwa ebweru;
balittulula ensuwa ze
baase n’ebibya bye.
13 Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,
ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala
bwe yeesiga Beseri.
 
14 “Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,
abasajja abazira mu ntalo?’
15 Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;
abavubuka be abato bagende battibwe,”
bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
16 “Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;
akabi katuuse.
17 Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,
mwenna abamanyi ettutumu lye;
mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,
ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’
 
18 “Mukke muve mu kitiibwa kyammwe
mutuule ku ttaka,
mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,
kubanga oyo azikiriza Mowaabu
alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
19 Muyimirire ku luguudo mulabe,
mmwe ababeera mu Aloweri.
Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,
mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
20 Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.
Mukaabe muleekaane!
Mulangiririre mu Alunoni
nti Mowaabu kizikiridde.
21 Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi
ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
22 ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,
23 ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;
24 ne ku Keriyoosi ne ku Bozula
ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.
25 Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,
n’omukono gwe gumenyese,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
 
26 “Mumutamiize;
kubanga ajeemedde Mukama.
Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,
era asekererwe.
27 Isirayiri tewagisekereranga?
Baali bamukutte mu bubbi,
olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera
buli lw’omwogerako?
28 Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,
mmwe ababeera mu Mowaabu.
Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo
ku mumwa gw’empuku.
 
29 “Tuwulidde amalala ga Mowaabu
amalala ge agayitiridde n’okwemanya,
okwewulira kwe era n’okweyisa kwe
era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
30 Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.
31 Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,
olwa Mowaabu yenna nkaaba,
nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
32 Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,
ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.
Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;
gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.
Omuzikiriza agudde ku bibala byo
ebyengedde era n’emizabbibu.
33 Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro
ne ku bibanja bya Mowaabu.
Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;
tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.
Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,
okuleekaana okwo si kwa ssanyu.
 
34 “Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye
okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.
Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,
kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
35 Ndiggyawo
abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,
ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
36 “Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;
gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.
Obugagga bwe baafuna buweddewo.
37 Buli mutwe mumwe
na buli kirevu kisaliddwako;
buli mukono gutemeddwako
na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
38 Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu
ne mu bifo awakuŋŋaanirwa,
tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,
kubanga njasizzayasizza Mowaabu
ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
39 “Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!
Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!
Mowaabu afuuse kyakusekererwa,
ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
40 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:
“Laba! Empungu ekka,
ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
41 Ebibuga birikwatibwa
n’ebigo biwambibwe.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu
giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
42 Mowaabu alizikirizibwa,
kubanga yajeemera Mukama.
43 Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
mmwe abantu ba Mowaabu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
44 “Buli alidduka entiisa
aligwa mu bunnya,
n’oyo aliba avudde mu bunnya
alikwatibwa omutego;
kubanga ndireeta ku Mowaabu
omwaka gw’okubonaabona kwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
 
45 “Mu kisiikirize kya Kesuboni,
abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,
kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,
ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,
era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,
n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
46 Zikusanze ggwe, Mowaabu.
Abantu b’e Kemosi bazikiridde,
batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse
ne bawala bammwe mu busibe.
 
47 “Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu
mu nnaku ezijja,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.