2
Okuzaalibwa kwa Yesu
Awo olwatuuka mu biseera ebyo, Kayisaali Agusito n’ayisa etteeka abantu bonna beewandiisa. Okubala kuno kwe kwasooka okubaawo ku mulembe gwa Kuleniyo nga ye gavana w’Obusuuli*. Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi, yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza. Naye bwe baali bali eyo ekiseera kya Maliyamu eky’okuzaala ne kituuka. N’azaala omwana we omubereberye omulenzi, n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba y’abagenyi.
Mu kiro ekyo waaliwo abasumba abaali mu kitundu ekyo kye kimu ku ttale nga bakuuma endiga zaabwe. Awo malayika wa Mukama n’abalabikira, ne waakaayakana n’ekitiibwa kya Mukama, ne batya nnyo. 10 Malayika n’abagumya nti, “Temutya, kubanga mbaleetedde amawulire amalungi ag’essanyu eringi, era nga ga bantu bonna. 11 Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi. 12 Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ng’abikkiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente.”
13 Amangwago eggye lya bamalayika ab’omu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti,
14 “Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo.
N’emirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda b’asiima.”
15 Awo bamalayika bwe baamala okuddayo mu ggulu, abasumba ne bateesa nti, “Tugende e Besirekemu tulabe kino ekibaddewo, Mukama ky’atutegeezezza.”
16 Ne bayanguwa ne bagenda, ne balaba Maliyamu ne Yusufu, n’omwana omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente. 17 Awo abasumba ne bategeeza bye baalabye, n’ebya bategeezeddwa ebikwata ku mwana oyo. 18 Bonna abaawulira ebigambo by’abasumba ne beewuunya nnyo. 19 Naye Maliyamu n’akuumanga ebigambo ebyo mu mutima gwe era ng’abirowoozaako nnyo. 20 Awo abasumba ne baddayo gye balundira ebisibo byabwe, nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw’ebyo byonna bye baawulira era ne bye baalaba nga bwe baali bategeezeddwa.
Yesu Atwalibwa mu Yeekaalu
21 Olunaku olw’omunaana olw’okukomolerwako bwe lwatuuka, n’atuumibwa erinnya Yesu, malayika lye yayogera nga Yesu tannaba kuba mu lubuto lwa nnyina.
22 Awo ekiseera bwe kyatuuka Maliyamu okugenda mu Yeekaalu atukuzibwe, ng’amateeka ga Musa bwe galagira ne batwala Yesu e Yerusaalemi okumuwaayo eri Mukama. 23 Kubanga mu mateeka ago, Katonda yalagira nti, “Omwana omubereberye bw’anaabanga omulenzi, anaaweebwangayo eri Mukama.” 24 Era mu kiseera kye kimu bakadde ba Yesu ne bawaayo ssaddaaka amateeka nga bwe galagira okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri.
25 Ku lunaku olwo, waaliwo omusajja erinnya lye Simyoni, eyabeeranga mu Yerusaalemi, nga mutuukirivu, ng’atya Katonda, era ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, ng’alindirira okusanyusibwa kwa Isirayiri. 26 Kubanga yali abikkuliddwa Mwoyo Mutukuvu nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo, Omulokozi. 27 Mwoyo Mutukuvu n’amuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo. 28 Simyoni n’ajja n’asitula Omwana mu mikono gye, n’atendereza Katonda ng’agamba nti,
29 “Mukama wange, kaakano osiibule omuweereza wo mirembe,
ng’ekigambo kyo bwe kigamba.
30 Kubanga amaaso gange galabye Obulokozi bwo,
31 bwe wateekateeka mu maaso g’abantu bonna,
32 okuba Omusana ogw’okwakira amawanga.
N’okuleetera abantu bo Abayisirayiri ekitiibwa!”
33 Kitaawe w’omwana ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebyayogerwa ku Yesu. 34 Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa. 35 Era naawe ennaku eri ng’ekitala erikufumita omutima, n’ebirowoozo by’omu mitima gy’abantu birimanyibwa.”
36 Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto n’amala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba n’afa, 37 n’asigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ng’asiiba n’okwegayiriranga Katonda emisana n’ekiro. 38 Awo Ana mu kiseera ekyo yali ayimiridde okumpi ne Maliyamu ne Yusufu, naye n’atandika okutendereza Katonda ng’amwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.
39 Awo bakadde ba Yesu bwe baamala okutuukiriza byonna ng’amateeka ga Mukama bwe galagira, ne baddayo e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya. 40 Omwana n’akula, n’aba w’amaanyi, n’ajjuzibwa amagezi n’ekisa kya Katonda kyali ku ye.
41 Bakadde ba Yesu buli mwaka bagendanga mu Yerusaalemi ku Mbaga y’Okuyitako. 42 Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n’ebiri egy’obukulu n’ayambuka e Yerusaalemi ne bakadde be ku mbaga, nga empisa yaabwe bwe yali. 43 Awo embaga ng’ewedde, ne bakyusa okuddayo ewaabwe, naye omulenzi Yesu n’asigala mu Yerusaalemi, naye bazadde be ne batakimanya. 44 Kubanga baalowooza nti ali ne bannaabwe mu kibiina ekirala, ekiro ekyo bwe bataamulaba, ne bamunoonya mu kibiina omwali baganda baabwe ne mikwano gyabwe. 45 Bwe bataamulaba kwe kuddayo e Yerusaalemi nga bamunoonya. 46 Awo nga baakamunoonyeza ennaku ssatu, ne bamusanga ng’atudde mu Yeekaalu n’abannyonnyozi b’amateeka ng’abawuliriza awamu n’okubabuuza ebibuuzo. 47 Bonna abaali bamuwuliriza ne beewuunya nnyo olw’amagezi ge n’okuddamu kwe. 48 Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina n’amugamba nti, “Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!”
49 Yesu n’abaddamu nti, “Mubadde munnoonyeza ki? Temwategedde nga kiŋŋwanidde okukola ebintu bya Kitange?” 50 Naye ne batategeera bigambo ebyo bye yabagamba.
51 N’asituka n’agenda nabo e Nazaaleesi, n’abagonderanga; kyokka nnyina ebigambo ebyo byonna n’abikuuma mu mutima gwe. 52 Awo Yesu n’akula mu mubiri, mu magezi, era n’alaba ekisa mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu.
* 2:2 Obusuuli ye Siriya mu biro bya kaakano