3
Yokaana Omubatiza Alongoosa Ekkubo
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’okufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga y’afuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga y’afuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga y’afuga Abireene, Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda. Yokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,
“Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti,
Mulongoose ekkubo lya Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge;
Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,
na buli ekyakyama kirigololwa,
n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”
Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”
10 Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”
11 Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
12 Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”
13 Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”
14 Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”
Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”
15 Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18 Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.
19 Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze, 20 ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera.
Okubatizibwa kwa Yesu
21 Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka, 22 Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
Olulyo lwa Yesu
23 Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu:
 
ne Yusufu nga mwana wa Eri, 24 Eri nga mwana wa Mattati,
ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki,
ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu,
25 ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi,
ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli,
ne Esuli nga mwana wa Naggayi, 26 ne Naggayi nga mwana wa Maasi,
ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini,
ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda,
27 ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa,
ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri,
ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri, 28 ne Neeri nga mwana wa Mereki,
ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu,
ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri,
29 ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza,
ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati,
ne Mattati nga mwana wa Leevi,
30 ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda,
ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu,
ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu,
31 ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna,
ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani,
ne Nasani nga mwana wa Dawudi, 32 ne Dawudi nga mwana wa Yese,
ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi,
ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni,
33 ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni,
ne Aluni nga mwana wa Kezulooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi,
ne Pereezi nga mwana wa Yuda, 34 ne Yuda nga mwana wa Yakobo,
ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu,
ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli,
35 ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu,
ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi,
ne Eberi nga mwana wa Seera, 36 ne Sera nga mwana wa Kayinaani,
ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu,
ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka,
37 ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki,
ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri,
ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani, 38 ne Kayinaani nga mwana wa Enosi,
ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu,
ne Adamu nga mwana wa Katonda.