22
Omugaso gw’Erinnya Eddungi
Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.
 
Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
 
Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.
 
Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
 
Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.
 
Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
ne bw’alikula talirivaamu.
 
Omugagga afuga abaavu,
naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.
 
Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.
 
Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
kubanga emmere ye agirya n’abaavu.
 
10 Goba omunyoomi, entalo zinaagenda,
ennyombo n’okuvumagana binaakoma.
 
11 Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu
era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.
 
12 Amaaso ga Mukama galabirira amazima,
era adibya entegeka z’abatali beesigwa.
 
13 Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”
 
14 Malaaya mutego gwa kabi,
akolimiddwa Mukama mw’afiira.
 
15 Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.
 
16 Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,
n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.
 
17 Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi,
n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
18 Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo,
n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.
19 Mbikumanyisa leero ggwe,
obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
20 Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula
era ebikuwa okumanya?
21 Sikulaze ekirungi n’ekituufu,
olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?
 
22 Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu,
oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23 Kubanga Mukama alibawolereza,
n’abo ababanyaga alibanyaga.
 
24 Tokwananga muntu wa busungu,
oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,
25 oleme okuyiga amakubo ge
ne weesuula mu mitawaana.
 
26 Teweegattanga ku abo abeeyama,
newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
27 Bw’oliba nga tolina kya kusasula
ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.
 
28 Tojjululanga nsalo
bajjajjaabo gye bassaawo edda.
 
29 Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?
Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.