23
Bw’otuulanga okulya n’omufuzi,
weetegerezanga ebiri mu maaso go;
era weegendereze
bw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya.
Tolulunkanira mmere ye ennungi,
kubanga erimbalimba.
 
Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga;
weefuge obeere mukkakkamu.
Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda,
kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro
ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.
 
Tolyanga mmere ya muntu mukodo,
wadde okwegomba ebirungi by’alya.
Kubanga ye muntu
abalirira ensimbi z’asaasaanyizza,
n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,”
naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.
Akatono k’onooba olidde onookasesema,
ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere.
 
Totegana kubuulirira musirusiru,
kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi.
 
10 Tojjululanga nsalo ey’edda,
so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,
11 kubanga abalwanirira w’amaanyi,
alikuggulako omusango.
 
12 Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa,
n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera.
 
13 Tolekangayo kukangavvula mwana,
bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
14 Mubonerezenga n’akaggo,
kiwonye emmeeme ye okufa.
 
15 Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi,
kinsanyusa.
16 Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange,
bw’onooyogeranga ebituufu.
 
17 Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya,
kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.
18 Mazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso,
n’essuubi lyo eryo teririggwaawo.
 
19 Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi,
okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20 Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,
n’abalulunkanira ennyama:
21 Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,
n’okubongoota olutata kubambaza enziina.
 
22 Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,
so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
23 Gula amazima so togatunda,
ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.
24 Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,
n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
25 Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke,
omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
 
26 Mwana wange mpa omutima gwo,
n’amaaso go geekalirize amakubo gange,
27 kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu,
n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.
28 Ateega ng’omutemu,
n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.
 
29 Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku?
Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya?
Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?
30 Abo abatava ku mwenge,
nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
31 Totunuulira wayini ng’amyuse,
bw’atemaganira mu ggiraasi
ng’akka empolampola;
32 ku nkomerero aluma ng’omusota,
wa busagwa ng’essalambwa.
33 Amaaso go galiraba ebyewuunyo,
n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
34 Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja,
obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
35 Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa.
Bankubye naye sirina kye mpuliddemu.
Nnaazuukuka ddi,
neeyongere okunywa?”