Zabbuli 11
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Mu Mukama mwe neekweka;  
ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,  
“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?   
2 Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe  
egy’obusaale,  
balase abalina omutima  
omulongoofu.   
3 Emisingi nga gizikirizibwa,  
omutuukirivu ayinza kukola ki?”   
   
 
4 Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;  
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.  
Amaaso ge gatunuulira  
era geetegereza abaana b’abantu.   
5 Mukama akebera abatuukirivu  
naye omutima gwe gukyawa ababi,  
n’abakola eby’obukambwe.   
6 Ababi alibayiwako  
amanda ag’omuliro;  
n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.   
   
 
7 Kubanga Mukama mutuukirivu  
era ayagala eby’obutuukirivu;  
abo abalongoofu be balimulaba.